Poliisi ya Flying Squad enkya ya leero ekutte DPC we Buyende Muhammad Kirumira okuva mu maka g’e Bulenga.

ASP Kirumira olunnaku olw’eggulo yalangiridde nti akyuse emirimu gya Poliisi olw’emisango egimutekebwako, egigendereddwamu okumulemesa okutambuza emirimu.

Ekibadde mu maka ga Kirumira e Bulenga
Ekibadde mu maka ga Kirumira e Bulenga

Wabula bw’abadde awayamu naffe ne 100.2 Galaxy FM agambye nti abakulu mu kitongole ekya Poliisi bamulumiriza nti asuukiridde olugambo nga gye buvuddeko, yabaloopa eri omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni.

Kirumira abadde agaanye okuva mu nnyumba kyoka oluggi lusaliddwa, natwalibwa.