Omuyimbi Catherine Kusasira asomozeza ssaabawandiisi w’ekibiina kya NRM Justine Lumumba Kasule mu mpaka z’okuzina.

Banno babadde mu Kampeyini y’ekibiina nga ssentebbe w’ekibiina kyabwe era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni asaba abalonzi mu bitundu bye Jinja East okulonda munnakibiina Nathan Igeme Nabeta olunnaku olw’enkya ku Lwokuna nga 15, March, 2018 asobole okutwala ensonga zabwe mu Palamenti.

Lumumba yagenze ku siteegi ng’omuyimbi Kusasira asanyusa abantu okunyenya ku kiwato okulaga bannakibiina bonna nti ye asobola bulungi nnyo okusaba abantu akalulu.

Lumumba okuzina kiggyayo ebigambo bya Dr. Tanga Odoi akulira ebyokulonda mu NRM nti Lumumba mukyala mulungi okuzina mu kusaba abalonzi akalulu kyoka tasobola mirimu gya manegimenti.


