Bya Rashidah Nakaayi

Kattikiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye Poliisi okwongera omutindo mu kunoonyereza okuzuula abantu bonna abegumbulidde okutwalira amateeka mu ngalo.

Olukiiko lwa Buganda olwa 25
Olukiiko lwa Buganda olwa 25

Munnamateeka Mayiga agamba nti waliwo abasajja abatandiise okutta abakyala mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo nga kivudde ku njawukana mukwano gwabwe omuli omukyala okukyawa omusajja oba omuwala okugaana omulenzi.

 

Mukuuma ddamula bw’abadde mu lukiiko lwa Buganda olwa 25 ku Bulange e Mmengo enkya ya leero, agambye nti “ettemu lisusse mu Uganda, Poliisi esaana ekole okunoonyereza okwa namaddala. Waliwo n’abatemula abakazi nti kubanga bamugaanye. Abakazi ndagala nnamu teziggwa mu lusuku, omukazi bw’akugaana, ng’omuleka ogenda ofuna omulala”.

Olukiiko lwa Buganda olwa 25
Olukiiko lwa Buganda olwa 25

Ku nsonga z’okugaziya Kampala asobole okulaakulanira awamu n’ebibuga ebirala, Kattikiro Mayiga agambye nti “ensonga y’okugaziya Kampala era National Planning Authority yampereza amabaluwa agenjawulo. Tugetegereza tusobole okubanukula mu bwangu”.