Omulamuzi wa kkooti enkulu e Mukono Margret Mutonyi ariko omuvubuka gwasindise mu nkomyo okusibwa amayisa oluvanyuma lw’okukiriza omusango gw’okusadaaka omuntu.

Hassan Isiiko 32, mutuuze ku kyalo Bulyankuyege mu goombolola y’e Buyoba mu disitulikiti y’e Kayunga, agenda kumala mu kkomera obulamu bwe bwona kuba akiriza nti yasaddaka Yakobo Kayizzi 84 eyali mulirwana we.

Okusinzira ku ludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Ann Kabajugu, Isiiko yasaddaka Kayizzi nga 24/May/2013 nga mu kiseera ekyo, omugenzi yali abeera yekka mu maka ge era mbu bali baludde nga balina obutakaanya.

Omulamuzi Mutonyi bwe yabadde awa ensala ye ku lunnaku olwokutaano, yagambye nti Isiiko musajja wabulabe nnyo era tasanidde kubeera mu bantu olw’empisa ze.