Omuyimbi Weasel Manizo ayongedde okulaga abantu nti alina ekitone ky’okuyimba wadde bangi ku bannayuganda bali bawakana.
Abantu bangi mu ggwanga lino bategeeza nti Weasel agenda kusanirawo ddala mu kuyimba kuba eyali akulembeddemu okuyiiya n’okuwandiika ennyimba Moses Nakintije Ssekibogo (Mowzey Radio) yava mu bulamu bw’ensi eno nga 1, Febwali 2018.

Wabula wadde Radio yafa, Weasel ayongedde okulaga eggwanga nti naye asobola okuyimba yekka.
Weasel asobodde okuyimba ennyimba ezenjawulo omuli Tokyayitaba okungubagira eyali mukwano gwe Radio, Thirty two (32) Weasel ne Spice Diana.
Mu kiseera kino, Weasel ayingizaawo “Good Over Evil”.
Bukya Radio ava mu bulamu bw’ensi, Weasel yasalawo okwegata mu kibiina ky’omugagga Brian Kirumira (Bryan White) ekya Bryan White Foundation era mu kiseera kino asobodde okukyusa embeera ze.
