Poliisi y'e Ntebbe ekutte omusajja ng'asangiddwa n'emmundu ekika kya AK47.

Denis Tumukunde yakwatiddwa okuva ku mwaalo gwe Kasenyi mu Town Council y'e Katabi, Kilo Meter 20 okuva yunivaasite y'e Nkumba.

Tumukunde asangiddwa n'ebintu ebyenjawulo mu ngeri emenya amateeka omuli emmundu, amasasi, ebyambalo by'amaggye, amafuta ga petuloli, ebijjambiya, Ndaga muntu y'ekibiina ky'amawanga amagate ekya United Nations (UN).

Omu ku batuuze Ritah Nakidde, agambye nti Tumukunde abadde asukkiridde okutigomya ekyalo omuli okwenyigira mu kkuba n'okutyobola ekitiibwa ky'abatuuze.

Okusinzira ku Ernest Akhankiriho akulira Poliisi y'e Kasenyi, Tumukunde aguddwako gw'okusangibwa n'ebyokulwanyisa, okwenyigira mu kkuba era essaawa yonna, wakutwalibwa mu kooti abitebye.