Kyaddaki Ssabaduumizi wa poliisi mu ggwanga Martin Okoth Ochola avuddeyo ku kiwamba n'ekitta bantu ekyongedde okusanikira mu ggwanga lyona.

Ochola agamba nti bakafuna emisango 42 mu banga lya myezi ena (4), nga kwabo 8 battiddwa, 20 beewamba, 8 be banunuddwa, 7 bakyabuze n'okutuusa kati.

Mungeri y'emu agambye nti wadde Poliisi, ekyagenda mu maaso n'okunoonyereza, ebikolwa ebyo, bikolebwa abagala okusaddaka, enjawukana mu mukwano eri abagalana, okusaba ssente n'akabinja k’abatujju kagaanye okwatukiriza okweyambisa omukisa gwo.

Ochola bw'abadde eyogerako eri bannamawulire ku kitebe kya Poliisi e Naguru, agumiza eggwanga nti, ebikolwa ebyo, bigenda kukoma mu bunambiro.