Poliisi y’e Kisoro etandiise okunoonyereza ekyaviriddeko omuwala myaka 16 okuttibwa mu bukambwe.

Omuwala Nyiranshuti Meran okuva ku kyalo Nyabune mu ggoombolola y’e Murora mu disitulikiti y’e Kisoro yakubiddwa abatuuze emiggo n’amayinja ekyaviriddeko okufa kwe era kigambibwa nti yasangiddwa n’ebijanjalo ebiteberezebwa okuba ebibbe.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kigezi, Elly Maate Poliisi etandiise okunonyereza lwaki Nyiranshuti yattiddwa mu ngeri bwetyo era abantu bonna abatwalidde amateeka mu ngalo bagenda kwatibwa.

Mungeri y’emu agambye nti omulambo gutwaliddwa mu ggwanika ly’eddwaaliro e Kisoro.