Entiisa n’ekiyongobero bibuutikidde abatuuze ku kyalo Anyara mu disitulikiti y’e Kaberamaido, omusomesa bwakubye mukyala we, namuttirawo.

Richard Eriatu, atemera mu gy’obukulu 40, nga musomesa ku Anyara Secondary School anoonyezebwa  ku by’okutta kabite we Betty Etura.

Okusinzira ku batuuze, omussomesa yasse mukyala we, ng’amutebereza okwerigomba n’abasajja abenjawulo ng’asinzira mu nsiko okumpi n’amaka ge mu lusuku ku lunnaku lwa Ssande.

Omulambo gw’omukyala gwasangiddwa mu kitaba ky’omusaayi olunnaku olw’eggulo ku Mmande ku makya, ate bba kalibutemu nga yaduuse dda.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye East Kyoga Michael Odongo, wadde omusomesa aliira ku nsiko, Poliisi etandiise omuyigo akwatibwe ku by’okutta mukyala era aguddwako gwa butemu.