Eby’omukozi w’e Makerere Kisuze eyakuguka mu kunywegera ebitundu by’ekyama bijjulidde, Gav’t eremeddeko

Kkooti ya Buganda Road erangiridde nga August, 20th, 2018 okutandiika okuwuliriza emisango egivunanibwa omukozi w’e Makerere, Edward Kisuze.

Kisuze myaka 44 avunaanibwa emisango ebiri okuli okugezaako okusobya ku muwala Njoroge Racheal Njeri n’okumutigaatiga gye yazza nga April 13, 2018 mu ofiisi ye nnamba 507 ku kizimbe kya Senate mu Makerere.

Omusango gwabadde gusubirwa okutandiika olunnaku olw’eggulo ku Mmande nga 23, July, 2018 kyoka Mariam Akello teyalabiseeko.

Okusinzira ku ludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Janat Kitimbo bbo bakomekereza okunoonyereza kwabwe wadde omusango gwongezeddwayo emirundi 3 olw’ensonga ezenjawulo.