Kkooti enkulu mu Kampala erangiridde nga 31, August, 2018 okuwuliriza okusaba okwatwalibwayo ku ky’okuyimbula Brian Isiko.

Isiko myaka 25 muyizi ku YMCA ettabi lye Jinja era kigambibwa nti aludde ng’asindikira omubaka omukyala we Kabarole Sylvia Rwabogo myaka 42, obugambo obusomoza nga bwali omukyala omulungi, amwegomba nga singa amukiriza, yetegese okukola obwasikaali okumukuuma nga tagenda kwejjusa.

omulamuzi Gladys Kamasanyu mu Kampala yasingisa Isiko emisango egyenjawulo omuli okweyambisa essimu ye mu ngeri emenya amateeka era yasindikibwa mu kkomera e Luzira okumala emyaka ebiri n’emyezi 9.

Wabula munnamateeka wa Isiko era omubaka we Bugweri mu Paalamenti Abdul Katuntu yaduukira mu kkooti enkulu mu Kampala ng’awakanya ekibonerezo ekyawebwa omuntu wabwe n’okusaba okuyimbula.

Embeera eyo, ewaliriza omulamuzi Jane Frances Abodo okutekawo nga 31, August, 2018, okuwa ensala ye ku ky’okweyimirirwa kwa Isiko.