Ssaabaminista wa Buyindi Narendra Damodardas Modi asabye enkolagana wakati w’eggwanga lye ne Uganda okweyongera, okusobola okutumbula enkulaakulana wakati wa mawanga abiri 2.

Modi agamba nti Buyindi netegefu nnyo okukolagana ne Uganda mu ngeri yonna okusobola okulakulanya abantu.

Ssaabaminista Modi olunnaku olw’eggulo ku Lwokusatu yabadde mu Paalamenti n’omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni era yatendereza demokulasiya ali mu Uganda n’okuwa omukisa abavubuka okwesimbawo mu bifo ebyenjawulo.

Pulezidenti Museveni ne Ssaabaminista Modi
Pulezidenti Museveni ne Ssaabaminista Modi

Bbo ababaka ba paalamenti bawagidde ebyayogeddwa ssaabaminisita Modi n’okusingira ddala okutumbula ebyobulamu omuli okulwanyisa Kansa, endwadde z’omutima nga bayita mu kuzimba eddwaliro erijanjaba endwadde ezo mu ggwanga lino.