Abalamuzi ba kkooti etaputa amatteeka enkya ya leero bagenda okuwa ensala yabwe mu musango gw’okukyusa sseemateeka w’eggwanga lino, okujja ekkomo ku myaka gy’omuntu yenna ayagala obukulembeze w’eggwanga lino.

Bano era bagenda kuwa ensala ku ky’ababaka ba paalamenti okweyongeza emyaka okuva ku etaano (5) okudda ku musanvu (7) n’okomyawo ebisanja bibiri (2) eri omuntu yenna awangudde okulembera egwanga lino Uganda.

Omusango, gwatwalibwayo bannamateeka abenjawulo, ababaka ba Paalamenti abamu ku ludda oluvuganya Gavumenti nga bakulembeddwamu Omuloodi wa Kampala Ssalongo Erias Lukwago era entekateeka zonna ez’okusala omusango gwo, zigenda mu maaso mu kkooti enkulu e Mbale.

Abalamuzi 5 nga bakulembeddwamu amyuka Ssaabalamuzi  Alfonse Owiny-Dollo balindiriddwa okuwa ensala yabwe.

Abalala kuliko Remmy Kasule, Elizabeth Musoke, Cheborion Barishaki ne Kenneth Kakuru.