Omulamuzi Cheborion Barishaki akawangamudde nti ababaka ba Palamenti okweyongeza emyaka 2 ku kisanja okuva kwe 5 okudda ku 7, balemwa ogoberera amateeka.

Omulamuzi Barishaki nga yasoose kwabo 5 mu kkooti etaputa ssemateeka okuwa ensala ye, ku nkyukakyuka ezakolebwa mu sseemateeka w’eggwanga lino, omuli okuggya ekkomo myaka gy’omulembeze w’eggwanga, okweyongeza emyaka 2 egy’ekisanja, okomyawo enkola y’ebisanja 2 eri ekifo ky’omukulembeze w’eggwanga lino n’enongosereza endala.

Wabula bannamateeka abenjawulo omuli n’ababaka ba Palamenti baduukira mu kkooti okuwakanya enkyakakyuka zonna kuba ekyakolebwa, balemwa okugondera amateeka.

Omulamuzi agambye nti okweyongeza emyaka 2 eri ababaka ba Palamenti ye kkumi (10), kyalimu obwanakyemalira n’okweyagaliza nga balemwa okwebuuza ku bantu sako n’okulemesa abantu abagala obuyinza okwesimbawo mu 2021.

Ekya Poliisi okweyingiza mu nsonga z’ababaka mu kiseera nga bebuuza ku bantu oba sseemateeka akwatibwako, omulamuzi agambye nti kyali kimenya amateeka.

Ate sipiika wa Paalamenti Rebbeca Kadaga, okugoba abamu ku babaka mu kiseera nga Omubaka  Raphael Magyezi ow’e Igara West ayanjula ebbago okukyusa akawayiro 102B, omulamuzi Barishaki agambye nti tewali tteeka lyamenyebwa.

Abalamuzi abalala abalindiriddwa okuwa ensala yabwe kuliko Remy Kasule, Elizabeth Musoke, Kenneth Kakuru n’amyuka ssaabalamuzi Alfonse Owiny-Dollo.