Abavuzi ba bbaasi mu Uganda nga bayita mu kibiina ekibagatta ekya “United Bus Owners Association Limited” baweze nga bwebatagenda kukola okutandika n’olwokutaano lwa wiiki eno ssinga gavumenti tejjawo nvumbo gyeyateeka ku kampuni ya bbassi eya Gaaga.

Bano bagamba nti kampuni ya Gaaga efiriddwa ssente mpitirivu nnyo okuva lwe yawerebwa okukola ate nga n’abantu naddala abava mu bitundu bya Arua nabo basanga obuzibu mu by’entambula.

Ekiwandiiko ekifulumiziddwa abavuga bbaasi
Ekiwandiiko ekifulumiziddwa abavuga bbaasi

Abalimu mulimu gwa bbaasi bagamba nti Gavumenti erina okuggya envumbo ku bbaasi ya Gaaga nga bakiriza ba dereeva abalina ebisanyizo okudda ku mirimu gyabwe sako n’okwekebejja bbaasi zonna eza Gaaga era eziri mu mbeera enungi, bazikirize okudda ku nguudo.

Mungeri y’emu bagambye nti singa ensonga yabwe tekolebwako, sabiti eno ku Lwokutaano nga 27, July, 2018 bagenda kuyimiriza emirimu gyabwe.

Ku nsonga eyo, omwogezi wa Minisitule y’ebyentambula Susan Kataike agambye nti ensonga za Gaaga zikolebwako mu bwangu era nasaba aba bbaasi obutekalakaasa.

Akabenje ka Gaagaa mu Disitulikiti y'e Nwoya mu 2016
Akabenje ka Gaagaa mu Disitulikiti y’e Nwoya mu 2016

Gavumenti yateeka envumbo ku bbaasi za Gaaga okumala omwezi mulamba nga kivudde ku bubenje obukoleddwa bbaasi okuva mu kampuni eyo, emirundi egiwera ng’abantu bafa.