Poliisi esambaze ebyogerwa nti omusirikale wabwe attiddwa mu kiro ekikeseza olwa leero mu disitulikiti y’e Kayunga.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Emilian Kayima, bazudde omulambo gw’omusajja Mwanga John atemera mu myaka 40 era abadde musirikale mu kitongole ky’obwananyini ekikuumi ekya Salasini.

Okubetinga ne Kagwirawohttps://www.kagwirawo.co.ug//

Kayima agamba nti enfa ya Mwanga ekyatankanibwa era omulambo gwe, gutwaliddwa mu ddwaaliro e Kayunga okwekebejjebwa.

Kayima bw’abadde ayogerako eri bannamawulire ku kitebe kya Poliisi e Naguru enkya ya leero, agambye nti omugenzi abadde mukuumi wa sitoowa y’ebyokwanyisa ebya kampuni eya salasini.

Kayima ayogedde