Abantu 11 kikakasiddwa nti bafudde, ate bangi banyiga biwundu mu kabenja akaguddewo enkya ya leero ku luguudo lwe Kabale-Kisoro.

Okusinzira ku batuuze, emmotoka ekika ISUZU ELF namba UAW 739M ebadde etiseeko abasuubuzi, ensawo z’obumonde, kuleeti za Soda n’ebirala, eremeredde omugoba waayo (Dereeva) neremererwa okuweta ekkoona eddene nakoona ekyuma ebbali w’oluguudo era negwa ku lusozzi lye Kanaba.

Okubetinga ne Kagwirawohttps://www.kagwirawo.co.ug//

Omu ku bakawonawo Deus Tumuranze agambye nti emmotoka ebadde eva ku kyalo Mengo mu ggoombolola y’e Muko mu disitulikiti y’e Rubanda okwolekera akatale mu ggoombolola y’e Kisoro akabeerayo buli lunnaku era abamu ku bafudde bakubiddwa ebyamaguzi.

Abafunye ebisago batwaliddwa mu ddwaaliro e Kisoro okufuna obujanjabi n’emirambo mu ggwanika.

Adduumira Poliisi mu disitulikiti y’e Kisoro Charles Okotto agambye nti Poliisi eyiriddwa mu bungi okutebenkeza embeera.