Mwana muwala Sheila Gashumba agudde mu bintu era mu Kampala y’omu ku bawala abasobola okweyimirizaawo mu ngeri yonna wadde abasajja abangi bavuddeyo okumusaba omukwano n’okusingira ddala abayimbi.
Kampuni ya WorldRemit ewadde Sheila endagano ya Bukadde okulemberamu okumanyisa abantu ebibakwatako.

Sheila wadde mukozi ku NTV, ayongedde okugaziya ku nfuna ye kuba buli mwezi alina okufuna omusaala okuva ku Ttiivi, WorldRemit erina okumusasula ne Africell kuba akola omuli ogw’ambasadda n’emirimu emirala.
Wadde bangi ku bawala balina omuzannyo mu kunoonya ssente, Sheila ayongedde okulaga nti buli muntu alina okukola ennyo okusobola okufuna ssente n’okwagala abantu.