Omulamuzi wa kkooti ku Buganda Road Robert Mukanza alangiridde nga 15, August, 2018 okuwa ensala ye oba abantu abakwatibwa ku by’okuwaamba n’okutta omukyala Suzan Magara oba abakiriza okufuna abasawo babwe (private doctors) okwekebejjebwa engeri gye batulugunyizibwamu.
Abavunanibwa kuliko Imam ku muzikiti gwa Usafi Mahad Kasalita, Yusuf Lubega avuga Bodaboda, Hussein Wasswa musuubuzi, Muzamiru Ssali avuga Bodaboda, Hajara Nakandi omusomesa.
Abalala kuliko Abubaker Kyewolwa, Hassan Kato Miiro, Ismail Bukenya basuubuzi ne Musa Abbas Buvumbo.
Abavunanibwa bagibwa ku muzikiti gwa Usafi mu Mayi wa 2018 mu kikwekweeto ky’ebitongole ebikuuma ddembe omwali Poliisi n’amaggye ku by’okuwaamba n’okutta omukyala Magara era bagulwako emisango egyenjawulo omuli ogw’okuwamba, obutemu era bonna bali ku limanda mu kkomera e Luzira.

Nga 12, June, 2018 abavunanibwa nga bakulembeddwamu munnamateeka wabwe Abdul Hakim Lubega basaba omulamuzi akirize bakeberebwe abasawo babwe kuba batulugunyizibwa nnyo nga bakwatiddwa mu ngeri ezenjawulo omuli n’okubookya engalo.
Olunnaku olw’eggulo ku Mmande, omulamuzi Mukanza yabadde asuubirwa okuwa ensala kyoka yategezeza nti teyetegese, nalangirira okuwa ensala ye nga 15, August, 2018.
Okubetinga ne Kagwirawohttps://www.kagwirawo.co.ug//
Wabula oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Patricia Akello lwasabye omulamuzi okugoba okusaba kwabwe.
Magara yabuzibwawo nga February 7, 2018 abantu abagambibwa okumusanga ng’ava ku ttundiro ly’amata erya Bwendero Dairy Farm ku luguudo Kabakanjagala.
Wabula oluvannyuma yasangibwa ng’attiddwa ng’omulambo gwe gusuuliddwa e Kitiko-Birongo okuliraana oluguudo lwa Entebbe Expressway nga February 27, 2018.