Kkooti enkulu mu Kampala enkya ya leero lwegenda okuwa ensala yaayo kukusaba okwatekebwayo ku ky’okuyimbula Brian Isiko.
Isiko myaka 25 muyizi ku YMCA ettabi lye Jinja era okusindikibwa mu kkomera e Luzira, kigambibwa nti aludde ng’asindikira omubaka omukyala w’e Kabarole Sylvia Rwabogo myaka 42, obugambo obusomooza nga bwali omukyala omulungi, gweyegomba nga singa amukiriza, yetegese okumwagala nnyo.
Isiko agamba nti yeepikira Omubaka Rwabogo mu buli mbeera yonna, wadde amusinga ku myaka.
Wabula omulamuzi Gladys Kamasanyu omwezi oguwedde ogwomukaaga, yamusingisa Isiko emisango egyenjawulo omuli okweyambisa essimu ye mu ngeri emenya amateeka era yasindikiddwa mu kkomera e Luzira okumala emyaka ebiri n’emyezi 9.
Wabula munnamateeka wa Isiko era omubaka w’e Bugweri Abdul Katuntu yaduukira mu kkooti enkulu mu Kampala ng’awakanya ekibonerezo ekyawebwa omuntu wabwe n’okusaba okuyimbula.
Embeera eyo, omulamuzi Jane Frances Abodo okutekawo olunnaku olwaleero okuwa ensala ye, ku ky’okuyimbula Isiko.