Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II anokoddeyo ensonga ez’omugundu, ezikuumidde bannansi mu mbeera embi wadde bangi bakola nnyo okukyusa embeera zabwe.
Beene bwe yabadde ku matikkira ge ag’emyaka 25, mu Lubiri e Mengo olunnaku olw’eggulo nga 31, July, 2018, yagambye nti obuluvu n’okweyagaliza eri abantu abamu mu ggwanga lino, y’emu ku nsonga lwaki abantu bangi bakyali mu mbeera mbi nnyo.
Mungeri y’emu, akatiriza nti obuli bw’enguzi n’obubbi bweyongedde mu ggwanga, ekiwadde omukisa abantu abamu okweyongera obugagga ate abalala nga baavu nnyo.
Kabaka agamba nti embeera eyo, yandivaako ebikolobero okweyongera omuli ettemu, obubbi, ebyokwerinda okutataganyizibwa n’ensonga endala.
Magulu nnyondo era akubiriza abantu be, okujjumbira okwekebeza omusaayi (Mukenenya) kuba kiyambira ddala okumanya woyimiridde mu by’obulamu.
Ssaabasajja agamba nti mukenenya yeyongedde ekiraga nti abantu beyongedde obugayaavu.