Poliisi ekuuma obutonde bw’ensi mu disitulikiti y’e Kitgum, ekutte emmotoka 5 n’abazibaddeko 12 lwa kusala miti mu ngeri emenya amateeka ne bookya amanda n’okusala embawo.

Emmotoka ezikwatiddwa kuliko Tuleera 4 ezibadde zitiise embawo okuli UAF331J/UAB909Y, SSD 158R/ZF3663, UAR668C/UAQ079C and UAF606N/UAE049H ne Fuso namba UAM 874Q, ebadde ettise ensawo z’amanda eziri mu 100.

Emmotoka zonna zikuumibwa ku Central Police Station (CPS) e Kitgum.

Ku nsonga eyo, Simon Peter Okoshi amyuka akulira Poliisi ekuuma obutonde bw’ensi mu disitulikiti y’e Kitgum, agambye nti ku bakwatiddwa kuliko badereeva, abasuubuzi n’abakozi.

Okoshi era agambye nti abamu ku bakwate bannansi ba South Sudan abayingidde Uganda nga tebalina bitambulizo ate ne benyigira mu kutambuza ebyamaguzi.