Kyakakasiddwa nti anaasangibwa ng’anyweera sigala oba Shisha mu lujudde mu Kampala wa kusibwa emyezi 6 oba okusasula emitwalo gya sillingi amakumu abiri (20) oba okukola ebibonerezo ebyo byombi .
Abakulu mu minisitule y’eby’obulamu ne Kampala Capital City Authority (KCCA) batoongozza kaweefube w’okukwasisa etteeka ku sigala awatali kutta ku liiso mun Kampala olunnaku olw’eggulo ku Lwokusatu.

Okusinzira ku Dr Hafsa Lukwata okuva mu minisitule y’eby’obulamu, abantu babadde basukkiridde okusasaanya endwadde omuli akafuba, amawugwe okulwala olw’okufuweeta sigala mu lujjudde.

Ate akulira eby’obulamu mu KCCA Dr Daniel Okello agambye nti abantu abanywa sigala, ebitundu 50 ku 100 bafa endwadde ezivudde ku sigala.
