Ababaka ba palamenti abaawakanya okukyusa ssemateeka w’eggwanga lino, beeyongeddeyo mu kkooti ensukkulumu okuwakanya ebyasalibwawo kkooti etaputa amateeka sabiti ewedde ku Lwokuna nga 26, July, 2018.

Mu kiwandiiko kyabwe kyetulabyeko ababaka okuli Hon Gerald Karuhanga, Hon Jonathan Odur, Hon Mubarak Munyagwa, Hon Semujju Nganda n’akulira oludda oluvuganya gavumenti mu Palamenti Winnie Kiiza, balaze ensonga 11 lwaki tebakkiriziganya n’abalamuzi ba kkooti etaputa amateeka.

Ababaka nga bakulembeddwamu bannamateeka babwe okuli Ssalongo Erias Lukwago, Ladislaus Lwakafuzi balemeddeko nti sseemateeka okumukyusa, balemwa okugoberera amateeka.

Ezimu ku nsonga ezirambikiddwa mu kujjulira kwabwe mwemuli

1 – Abalamuzi tebalina we baayogeredde ku sipiika wa palamenti Rebbecca Kadaga nti yakozesa obukambwe okufulumya ababaka mu palamenti nga tabawadde mukisa kwennyonnyolako lwaki bawakanya eby’okuggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti.

2- Okuyiwa abaserikale mu palamenti abamu ku balamuzi baakiraba nga ekituufu kyokka kyali kimenya mateeka.

3 – Lukwago yategeezezza nti tebaamatira ku nsalawo ya ssente obukadde 29 palamenti ze yawa ababaka okwebuuza ku balonzi.

4 – Lwaki kkooti teyafuna ludda lwa Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni ng’emuyita aginnyonnyole.

Ku balamuzi 5 mu kkooti etaputa amateeka, 4 bawagidde okuggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti okuli Alfonse Owiny Dolo, Remmy Kasule, Elizabeth Musoke ne Cheborion Balishaki ate Kenneth Kakuru bwe yali awa ensala ye, yagambye nti entekateeka yonna ey’okukyusa sseemateeka, yakolebwa mu bukyamu.