Poliisi mu Kampala ekutte omuvubuka abadde asobya ku mukazi.
Leo Turyasingula myaka 19 omutuuze ku zooni y’e Kibe, e makerere III e Kawempe asangiddwa lubona ng’alina omukazi gw’asobyako mu kiro ekyakeesezza olunnaku olw’eggulo ku Lwokuna mu ttaawo ly’oku luguudo lwa Northern bypass ku Kaleerwe.
Omukazi atemera mu myaka 34 nga mutuuze we Mayinja zooni era agamba nti Turyasingula yamusanze ku ssaawa 6 ez’ekiro mu ttaawo n’amutayiizza n’amukwata mu bulago nga bwamulabula nti singa akuba enduulu agenda kumutta, n’amutigaatiga nga ng’eno bw’amukaka omukwano era abaserikale ba Poliisi abaabadde balawuna bebasobodde okutaasa.
Ku nsonga eyo, omusirikale James Ssentamu e Kawaala agambye nti batandiise okunoonyereza ku Turyasingula era alabudde abakyala okwesonyiwa amataawo okuli Kyebando, Kaleerw, Kawaala , Bwaise kuba singa ziwera ssaawa 8 ez’ekiro abavubuka bangi nnyo abakyamu abekwekamu okusobola okutigomya abantu.
Ekifaananyi kya Bukedde