Omulamuzi wa kkooti enkulu mu Kampala Jane Abodo enkya ya leero, agenda kuwa ensala ye kukusaba okwatwalibwayo omuvubuka Brian Isiko myaka 25 ng’asaba okweyimirirwa.

Isiko yateekayo okusaba okweyimirirwa era nawakanya ekibonerezo ekyamuwebwa, omulamuzi wa Buganda Road Gladys Kamasanyu eky’okusibwa emyaka ebiri olw’okukwana omubaka omukyala ow’e Kabarole Sylivia Rwabwogo.

Isiko muyizi ku YMCA ettabi lye Jinja era okusindikibwa mu kkomera lye Nagojje, kubigambibwa nti aludde ng’asindikira omubaka Rwabogo myaka 42, obugambo obusomooza nga bwali omukyala omulungi, gweyegomba nga singa amukiriza, yetegese okumwagala nnyo.

Brian Isiko
Brian Isiko

Wabula mu kusaba okweyimirirwa, Isiko yategeza nti okusibwa, kigenda kutataaganya okusoma kwe ate n’okwepikira omubaka Rwabogo mu kaboozi tekityoboola kitiibwa kye wadde okukuma mu bantu omuliro.

Mu kkooti ku lunnaku olwokusatu sabiti eno nga 1, August, 2018, Isiko yaleeta abamweyimirira babiri (2) okuli Munnamagye eyaganyuka Grace Regan Muganza ne Wako Godfrey amyuka akulira ebyenjigiriza ku yunivaasite y’e Kyambogo.

Munnamateeka wa Isiko, Ramadhan Waiswa yasabye kkooti omuntu we okweyimirirwa nga tasabiddwa ssente yonna kuba muyizi era talina ssente.

Wabula oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Nyanzi Gladys naye yasabye omulamuzi obutagezaako wadde kuyimbula Isiko kuba alemeddwa okuleeta jjajja we Alice Matende mu kkooti, okakasa nti babeera bombi.

Mungeri y’emu Gladys yagambye nti Isiko alemeddwa okuleeta ekiwandiiko kyona mu kkooti wadde endagamuntu, okumatiza nti muyizi ku YMCA.

Ebyo byonna omulamuzi Abodo, kweyasinzidde okulangirira olunnaku olwaleero, okuwa ensala ye.