Omulamuzi wa kkooti enkulu mu Kampala Jane Francis Abodo, ayimbidde Brian Isiko, omuyizi ku YMCA ettabi lye Jinja eyali asindikiddwa mu kkomera okumala emyaka ebiri (2) lwa kwepikira omubaka omukyala ow’e Kabarole Sylivia Rwabwogo mu kaboozi.
Isiko myaka 25 yateekayo okusaba mu kkooti eyo okweyimirirwa era nawakanya, ekibonerezo ekyamuwebwa, omulamuzi wa Buganda Road Gladys Kamasanyu eky’okusibwa emyaka ebiri.
Mu kusaba kwe, ng’akulembeddwamu munnamateeka we Ramadhan Waiswa, yategeza nti okusibwa, kigenda kutataaganya okusoma kwe ate n’okwepikira omubaka Rwabogo mu kaboozi, tekityoboola kitiibwa kye wadde okukuma mu bantu omuliro.
Mungeri y’emu yaleeta abantu babiri (2) okumweyimirira okuli Munnamagye eyaganyuka Grace Regan Muganza ne Wako Godfrey amyuka akulira ebyenjigiriza ku yunivaasite y’e Kyambogo.
Enkya ya leero, omulamuzi Abodo ayimbudde Isiko kakalu ka kkooti ka mitwalo 50 ez’obuliwo ate abamweyimiridde obukadde 5 buli omu ezitali za buliwo.

Omulamuzi era alagidde Isiko, okweyanjulanga eri omuwandiisi wa kkooti buli Lwakutaano mu sabiti ey’okusatu buli mwezi, okutuusa nga kkooti eyisiza ebiragiro ebiggya.
Omulamuzi era azimudde okusaba okwakoleddwa oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Nyanzi Gladys, Isiko obutayimbulwa kuba yalemeddwa okumatiza kkooti awatuufu gyasula wadde okuleeta ekiwandiiko kyona ekiraga nti muyizi ku YMCA.
Isiko okusindikibwa mu kkomera lye Nagojje, kibigambibwa nti aludde ng’asindikira omubaka Rwabogo myaka 42, obugambo obusomooza nga bwali omukyala omulungi, gweyegomba nga singa amukiriza, yetegese okumulaga omukwano.