Omubaka omukyala akiikirira disitulikiti y’e Kasese Winnie Kiiza ategeezeezza nti ssi wa kuva mu w’ofiisi y’akulira oludda oluwabula gavumenti mu paalamenti, okuggyako ng’ekibiina kye kya Forum for Democratic Change (FDC) kimuwaandiikidde mu butungole okumutegeeza ku enkyukakyuka ezakoleddwa.
Kinajjukkirwa nti sabiti ewedde ku Lw’okutaano, Pulezidenti w’ekibiina kya FDC Amuriat Oboi Patrick yavaayo n’alangirira nga bw’akoze ekyukakyuka mu bukulembeze bw’oludda oluvuganya gavumenti mu paalamenti era wano n’ekifo ky’akulira oludda oluvuganya kyateekebwamu omubaka omukyala owe Gulu, Betty Aol Ochan.

Kiiza era agamba nti ebitandiise okukolebwa Amuriat biragira ddala nti entebe naye emwokya kuba alemeddwa okutambuza emirimu mu ngeri eyinza okuyamba ekibiina.
MU nkyukakyuka FDC ze yakoze ku bifo bya Palamenti, abantu bonna abaawagira Mugisha Muntu baabasudde ne bassaawo abaalwanirira ennyo Dr. Kizza Besigye era nga baawagira ne Patrick Oboi Amuriat ku bwapulezidenti bw’ekibiina.
Angelina Osege (ow’akakiiko ka PAC), Abdu Katuntu (ow’akakiiko ka COSASE), Anita Among, Reagan Okumu (ow’akakiiko ka LGAC) bonna baawagira Muntu ng’attunka ne Amuriat era bonna baabeeze.
Mu nkyukakyuka zino, awabadde Abdu Katuntu baataddewo Mubarak Munyagwa “Mugaati gwa Bbata” ng’amyukibwa Moses Kasibante owa Lubaga North.
Mu baasuuliddwa abalala kuliko; Cecilia Ogwal abadde kaminsona ku lukiiko olufuzi olwa Palamenti, Gerald Karuhanga abadde amyuka Reagan Okumu ku kakiiko akanoonyereza ku ssente ezikozesebwa Gavumenti ez’ebitundu (LGAC).