Ekitongole kya Poliisi mu ggwanga kitandiise enteekateeka okussa kamera enkessi mu bifo eby’enjawulo mu ggwanga, nga kati kamera eziri 3233, zigenda kuteekebwa ku nguudo z’omu Kampala n’emiriraano wokka.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Emilian Kayima, kamera zigenda kuyambako okutangira obumenyi bw’amateeka, okwanguyiza Poliisi mu by’okunoonyereza ku misango, okuyambako mu kulungamya entembula y’ebiduuka, okuddukirira mu bwangu awaba wagudde obuzibu, okunyweza emirembe n’emigaso emirala.

Mungeri y’emu Kayima agambye nti mu ggwanga lyona, bagenda kuteekamu kamera 5552 era akoowodde abantu bonna obutayonoona kamera ezo.
Poliisi egeenda kuzimba ekifo ekikulu ku kitebe kya Poliisi e Naguru, okulondoola kamera zonna mu ggwanga.
Kinajjukirwa nti omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni yasuubiza dda okuteeka kamera mu nguudo ezenjawulo olw’ettemu mu ggwanga omuli okutta eyali omwogezi wa Poliisi mu ggwanga Andrew Felix Kaweesi nga 17, March, 2017 e Kulambiro, Kampala, omubaka we Arua Ibrahim Abiriga nga 8, June, 2018 n’abalala.