Poliisi y’e Kabale ekutte omuvubuka myaka 19 mu kutta muntu.

Gideon Bikorwamuhangi omutuuze ku kyalo Birambo mu ggoombolola y’e Maziba yakwattiddwa ku by’okutta Reuben Kabebe myaka 25 ku kyalo kye kimu, abadde avuga bodaboda.

Okusinzira ku batuuze, Gideon ne Reuben bafunye obutakaanya nga bazannya matatu nga kivudde ku nsimbi ezawanguddwa, ekyawaliriza Gideon okuddayo awaka okuleeta ejjambiya, nasalako Reuben obulago ng’ava mu mugongo.

Elly Maate
Elly Maate

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kigezi Elly Maate, wadde Reuben yawereddwa ab’enganda, ab’emikwano okuziikibwa, Gideon ali mu kaduukulu kabwe ku Poliisi y’e Kabale ku misango gy’obutemu, era avumiridde eky’okutwalira amateeka mu ngalo.

Maate era akowoodde abatuuze okuyambako Poliisi okulwanyisa abavubuka bonna abegumbulidde okuzannya zzaala kuba kigenda kuyambako nnyo okutangira ebikolobero.