Poliisi eyungudde basajja baayo okunoonyereza ku musirikale wabwe eyasobeza ku mwana omuwala atanetuuka ku kyalo Nyimbwa mu disitulikiti y’e Luweero.

Omwana gwebasobezaako, assoma kyakutaano ku Ssomero erya St Theresa Primary school era kigambibwa nti, yali ayagala kwetta, abazadde be kwekusalawo okumutwala ku Poliisi okuyambibwa.

Omwana ng’ali mu kaduukulu, omusirikale Constable Charles Mpima myaka  49 yawulira obuswandi n’amaddu namusobyako.

Paul Kangave
Paul Kangave

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bya Savanah, Paul Kangave, ebbaluwa y’abasawo ekakasiza nti omwana bamusobezaako kyoka wadde omusirikale wabwe Mpima yekukumye, Poliisi etandiise omuyigo.

Kangave agamba nti ku Poliisi ye Nyimbwa balinawo abasirikale basatu (3) ate bonna basajja nga mu kiseera maama weyatwalira omwana, yasangawo Constable Mpima yekka nga banne bagenze ku mirimu.

Mu kiseera kyo, Constable Mpima yafuna omukisa okusobya ku mwana kuba ku Poliisi yaliwo yekka nga tewali muntu yenna ayinza kumulemesa.

Eddoboozi lya Paul Kangave