Kyaddaki omukulembeze w’eggwanga erya Democratic Republic of Congo, Joseph Kabila alangiridde nti tagenda kuddamu kwesimbawo mu kulonda kwa Desemba, 2018.

Mu nsisinkano eyetabiddwamu ebibiina ebyenjawulo okuli People’s Party for Reconstruction and Democracy (PPRD) ne Common Front for Congo (FCC) bakiriziganyiza ne balonda Emmanuel Ramazani Shadary okusikira Kabila mu kuvuganya ku bukulembeze bw’eggwanga.

Joseph Kabila
Joseph Kabila

Shadary yaliko minisita w’ensonga z’ebweru w’eggwanga ate mu kiseera kino, muwandiisi w’ekibiina kya PPRD, yaliko Gavana mu ssaaza lye Maniema.

Okubetinga ne KAgwirawohttps://www.kagwirawo.co.ug//

Ebiva mu ggwanga eryo, biraga nti Shadary agenda kuvuganya ne Jean-Pierre Bemba.

Jean-Pierre Bemba
Jean-Pierre Bemba

Shadary yazaalibwa nga 29, November, 1960 ku kyalo Kasongo, mu ssaaza lye Maniema mu ggwanga erya DRC, abadde nnyo mu byobufuzi okuva mu 1992.

Kabila yazaalibwa nga 4, June, 1971 era abadde Pulezidenti wa DRC okuva mu 2001 oluvanyuma lwa  kitaawe Laurent-Desire Kabila okutibwa, ekisanja kye kyagwako mu 2016 kyoka abadde alemedde mu ntebbe okusobola okulemberamu okutekateeka okulonda okw’amazima n’obwenkanya era mu Desemba, bannansi bagenda kulonda.