Poliisi etandiise okunoonyereza ku ngeri omuyizi Cleophas Rukundo myaka 27 ku Bishop Barham University College mu disitulikiti y’e Kabale ng’asoma diguli mu by’obusuubuzi mu mwaka gwe ogwokusatu, gye yattiddwamu nga busasaana olunnaku olw’eggulo ku Ssande nga 12, August, 2018.
Rukundo yabadde mu bbaala emanyikiddwa nga New California T & J Transit bar and Hotel ng’ali n’omuwala, ekibinja ky’abantu nga bakulembeddwamu ategerekeseko erya Tom ne bamuzingako nga bamulumiriza okusigula mukyala wabwe.
Kigambibwa Tom yakutte akambe nafumita Rukundo ku mukono gwa ddyo era nafa nga bakamutuusa mu ddwaaliro ekkulu e Kabale olw’omusaayi omungi ogwamuvuddemu.

Wabula omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kigezi Elly Maate agambye nti Poliisi etandiise okunoonyureza abakoze ekikolwa ekyo, bonna bakwatibwe.