Paalamenti evuddeyo okulwanyisa ebikolwa by’okabasanya abayizi ku massomero agenjawulo ne yunivaasite.
Mu Uganda, abaana bangi bafunye embuto nga kivudde ku basomesa okubekakatikako ate ku yunivaasite n’okusingira ddala abaana abawala, babasindikiriza mukwano ng’abasomesa basuubiza okubawa makisi basobole okuyita ebigezo.
Olunnaku olw’eggulo ku Lwokubiri, sipiika wa Paalamenti, Rebecca Alitwala Kadaga yalangiridde akakiiko k’abantu 7, abagenda okutabala eggwanga lyona okunoonyereza ekivuddeko ebikolwa ebyo okweyongera omuli n’okwebuuza ku baana abakabasanyizibwa
Akakiiko, kakulemberwa omubaka w’e Gomba West, Robinah Rwakoojo n’amyukibwa omubaka Gideon Onyango ow’e Samia-Bugwe North.
Abalala abali ku kakiiko kuliko omubaka omukyala owe Masaka, Babirye Mary Kabanda, omubaka we Luuka South tephen Kisa, omubaka we Kioga Anthony Okello, Omubaka Sarah Babirye Kityo, omubaka we Padyere Joshua Anywarach, omubaka we Bukonjo West Atkins Katusabe n’omubaka Mwine Mpaka owa bavubuka.
Yunivaate y’e Makerere enokoddwayo nnyo nti abassomesa benyigidde nnyo mu kabasanya abayizi n’okusingira ddala abawala era omuyizi Racheal Njeri yasembyeyo okuvaayo.