Abasirikale mu bitongole ebikuuma ddembe okuli Poliisi n’amaggye batevunya nga munyera mu bitundu by’e Arua okutebenkeza emirembe, okutangira omuntu yenna ayinza okutataaganya okulonda enkya ya leero, ng’abatuuze balonda omubaka agenda okudda mu bigere bya Ibrahim Abiriga eyattibwa mu bukambwe nga 8, June, 2018.

Abesimbyewo bangi ddala kyoka okuvuganya okwamannyi kuli wakati w’abantu 3 okuli munna NRM Nusura Tiperu, munna FDC Bruce Musema ne Kassiano Wadri eyesimbyewo nga talina kibiina.

Abalala abesimbyewo kuliko Mr Jaffar Alekua (Jeema), Mr Kennedy Madira (DP), Francis Elton Nyero, Sunday Anguandia, Alfred Nyakuni, Jackson Atima, Simon Avutia, Safi Bavuga ne Robert Ejiku.
Wabula ssentebbe w’akakiiko k’ebyokulonda omulamuzi Simon Mugenyi Byabakama myaka 61, awanjagidde abalonzi okukuuma emirembe okwewala efujjo okusobola okufuna okulonda okw’amazina n’obwenkanya.
Wabula abasirikale bangi ddala abalawuna omuli abatambulira ku bigere, ku mmotoka, abali mu yunifoomu n’abatali nga byona bikolebwa okutebenkeza ebyokwerinda.