Nnamwandu w’omugenzi Yasin Kawuma ayattiddwa akawungeezi k’olunnaku olwa Mmande nga 13, August, 2018 mu katawuni ka Arua, awanjagidde omubaka w’e Kyadondo East mu Paalamenti Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine okuvaayo bunambiro okulabirira abaana b’omugenzi.

Aba famire, bavumiridde effujjo n’obukambwe obwakoleddwa amaggye ne poliisi ku bawagizi ba Kasiano Wadri mu Arua omwafiridde mmemba waabwe Kawuma abadde dereeva w’omubaka Bobi Wine eyakubiddwa amasasi.

Wabula Namwandu Nansubuga Annet ng’asangiddwa mu maka gabwe ku kyalo Lusanja mu Town Council y’e Kasangati, mu disitulikiti y’e Wakiso agamba nti bba, okuttibwa, embeera atandikiddewo okubiggya era omubaka Robert Kyagulanyi Ssentamu yasigadde okuyamba okutakiriza embeera omuli okusomesa abaana, okufuna eby’okulya, okujjanjaba abaana n’ensonga endala.