Abawagizi ba Kassiano Wadri Ezati eyabadde yesimbyewo nga talina kibiina baasuze babinuka masejjere olw’omuntu wabwe okuwangula akalulu ku ky’omubaka wa Paalamenti owa Arua okudda mu bigere bya Ibrahim Abiriga, eyattibwa gye buvuddeko nga baamukuba amasasi agamuttirawo e Kawanda okumpi n’amaka ge mu disitulikiti y’e Wakiso.

Kassiano Wadri awangudde n’obululu 6421 ate munna NRM Nusura Tiperu akutte kyakubiri n’obululu 4798.
Robert Ejiku nga naye abadde talina kibiina akutte kyakusatu n’obululu 2694, munna FDC Bruce Musema amalidde mu kyakuna 1369.
Abalala Atima Jackson afunye 835, Sunday Anguandia 136, Jaffer Alekua owa JEEMA 38, Simon Avutia 32, Nyakuni Alfred 30, Madira Kennedy 26, Safi Bavuga 19 ne Nyero Francis 18.

Akulira ebyokulonda mu kitundu ekyo, Ruth Angom mu kulangirira Kassiano ku buwanguzi, agambye nti abantu 17089 bebasobodde okulonda kyoka obululu 613 bwafudde.
Kassiano Wadri wadde yawangudde okulonda, yabadde mu kkomera era teyasobodde kweronda.
Wadri, Bobi Wine n’abalala bakwatibwa ku Mmande ekiro, okuva mu kibuga Arua mu Hotel “Pacific” era baguddwako ogw’okulya mu nsi olukwe.