Abayimbi ne banakatemba, bawanjagidde ebitongole ebikuuma ddembe okuyamba okuyimbula oba okubawa, omubaka we Kyadondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine okusobola okufuna obujanjabi.
Robert Kyagulanyi Ssentemu, eyakwatibwa sabiti ewedde ku Mmande nga 13, August, 2018, nasimbibwa mu kkooti y’amaggye e Gulu, nasindikibwa ku Limanda mu kkomera e ly’amaggye e Makindye, okutuusa nga 23, August, 2018, ku misango gy’okusangibwa ne by’okulwanyisa omuli emmundu.

Abayimbi okubadde Dr Jose Chameleone, King Saha, Eddy Kenzo, Roden Y Kabako, Dr Hilderman, Ziza Bafana n’abalala bakunganidde ku Calendar Guest House Makindye era bagambye nti muyimbi munabwe Bobi Wine ali mu mbeera mbi nga yetaaga okufuna obujanjabi.
Mikie Wine agamba nti Bobi Wine bamukuba nnyo era atandiise okuvunda.