Kkooti enkulu erangiridde sabiti ejja nga 27, August, 2018, okuwa ensala yaayo ku ky’okweyimirirwa kw’abantu abakwatibwa mu bitundu bya Arua ne basindikibwa ku Limanda mu kkomera e Gulu ku misango gy’okulya mu nsi olukwe.

Abakise ba Palamenti okuli Kassiano Ezati Wadri, Paul Mwiru, Gerald Karuhanga, Michael Mabike eyali omubaka w’e Makindye East n’abantu babuligyo abasuuka 30 be bali mu kkomera ku misango gy’okulya mu nsi olukwe oluvanyuma lw’effujjo eryakolebwa mu bitundu bya Arua, eryavirako omuntu omu okutibwa, abangi okulumizibwa n’emu ku mmotoka z’omukulembeze w’eggwanga lino, okwasibwa ne ndabirwamu neyiika.

Omulamuzi Mubiru Stephen yalondeddwa okuwuliriza okusaba okwo mu kkooti enkulu e Gulu.

Asuman Basalirwa
Asuman Basalirwa

Wabula munnamateeka w’abakwate Asuman Basalirwa agambye nti alina esuubi nti abantu be, bagenda kuyimbulwa okuddamu okutambuza emirimu gyabwe n’okufuna obujanjabi.