Omubaka we Kyadondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu akwatiddwa amangu ddala ng’ayimbuddwa okuva mu kkooti y’amaggye.

Enkya ya leero, kkooti y’amaggye etudde Gulu ng’ekulembeddwamu ssentebbe waayo Lieutenant General Andrew Gutti balangiridde nti emisango gyona egibadde givunaanibwa Bobi Wine gimugiddwako.

Lieutenant General Gutti agambye nti sikyabwenkanya okuvunanibwa mu kkooti y’amaggye ng’ate emisango gye giri mu kkooti endala ey’abantu babuligyo era nayimbulwa.

Bobi Wine ngafuluma kkooti y'amaggye
Bobi Wine ngafuluma kkooti y’amaggye

Wabula amangu ddala ng’ayimbuddwa munnamateeka we, Medard Lubega Segona amutegezeza nti afunye ekiragiro kya Poliisi nti azzeemu okukwatibwa era atekeddwa mu mmotoka ya Poliisi natwalibwa mu kkooti e Gulu okwegata ku banne abasuuka 30 okuli omubaka Kasiona Wadri, Paul Mwiru, Gerald Kaluhanga n’abalala abali ku misango gy’okulya mu nsi olukwe abasindikibwa ku Limanda mu kkomera e Gulu okutuusa nga 30, August, 2018.