Omubaka w’e Kyadondo East, Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine enkya ya leero asubirwa okuletebwa mu kkooti y’amaggye e Makindye oba Gulu ekubirizibwa Lieutenant General Andrew Gutti.

Omubaka Kyagulanyi sabiti ewedde yasimbibwa mu kkooti y’emu eyatuula e Gulu, nagulwako emisango egyenjawulo omuli okusangibwa n’ebyokulwanyisa omuli emmundu, emasasi n’ebintu ebirala.

Lieutenant General Andrew Gutti
Lieutenant General Andrew Gutti

Mu kkooti omutakirizibwa muntu yenna okuleka bannamateeka be, Bobi Wine yasindikibwa ku Limanda, okutuusa olunnaku olwaleero nga 23, August, 2018 era okuva sabiti ewedde abadde mu kaduukulu k’amaggye e Makindye.

Bobi Wine yakwatibwa ne banne mu bitundu bya Arua sabiti ewedde nga 13, August, 2018 oluvanyuma lw’effujjo eryakolebwa, omwafira omuntu omu, abantu bangi okulumizibwa nga bakubiddwa n’emu ku mmotoka z’omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni okubwa endabiramu neyiika mu kiseera nga bakomekereza okunoonya akalulu okujjuza ekifo ky’omubaka wa Arua, ekyalimu Ibrahim Abiriga, Kassiano Ezati Wadri eyali yesimbyewo nga talina kibiina ke yawangula wadde naye ali mu kkomera e Gulu ku misango gy’okulya mu nsi olukwe.