Poliisi mu Kampala ekutte emmotoka bbiri ezibaddeko ebipiira by’emmotoka ebikadde nga bibadde, byakweyambisibwa mu kwekalakaasa.

Okusinzira ku kiwandiiko ekifulumiziddwa amyuka omwogezi wa Poliisi mu ggwanga Patrick Onyango, ebipiira, bibadde byakweyambisibwa abantu abenjawulo essaawa yonna okutabangula emirimu n’ebyentambula nga bookya ebipiira mu kkubo, mu bitundu bya Kampala ebyenjawulo.

Ekiwandiiko ekikambwe, Poliisi ekakasiza nti waliwo, abakwatiddwa kyoka bannanyini mmotoka basobodde okuduuka era Poliisi etandiise okubayiga.

Onyango era akowoodde abantu bonna okusigala nga bakuuma emirembe kuba tewali muntu yenna agenda kukirizibwa kwenyigira mu kukola ffujjo.