Kyaddaki omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni ayanukudde bannayuganda abamusabye okusasira okuyimbula omubaka we Kyadondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine okuva mu kkomera.
Okuva sabiti ewedde, bannayuganda bangi omuli n’omuyimbi Dr Jose Chameleone basabye Pulezidenti Museveni okuyamba Bobi Wine okuva mu kaduukulu kuba okusindikibwa mu kkomera kigenda kutataganya emirimu gye, famire, okusanyalaza ekisaawe ky’okuyimba n’ebintu ebirala.
Wabula Museveni asobodde okweyambisa omukutu ogwa Face Book okwanukula ku nsonga ezimu ezigenda mu maaso mu ggwanga lino.

Agamba nti singa omuntu yenna akwatibwa nagulwako omusango gwona, ye nga Pulezidenti, talina buyinza kumugyako musango, obuyinza busigalira kkooti ne Ssaabawaabi wa Gavumenti (DPP) okumugyako omusango gwona ng’asinzidde ku nsonga ezenjawulo omuli obujjulizi obutamala.
Yoweri Museveni awanjagidde bannayuganda okuwa kkooti obudde okusalawo ku nsonga za Robert Kyagulanyi Ssentamu.
Ku facebook, agambye bwati “On the issue of releasing Bobi Wine and the others , the President of Uganda does not have such powers. Once somebody is arrested, charged and remanded, it is only two authorities who can release such people in any way: the Courts or the DPP withdrawing charges if the evidence is not enough. Let us therefore, wait for the Courts and see what they decide”.