Omulamuzi wa kkooti enkulu Entebbe Jane Abodo enkya ya leero, asubirwa okuwa ensala ye oba Godfrey Wamala amanyiddwa nga Troy omutuuze we Kyengera mu disitulikiti y’e Wakiso akkirizibwa okweyimirirwa oba agira abeera ku alimanda.

Wamala avunaanibwa omusango gw’okutta omuyimbi Moses Sekibogo eyali amanyikiddwa nga Mowzey Radio.

Ladislaus Rwakafuzi
Ladislaus Rwakafuzi

Munnamteeka wa Troy, Ladislaus Rwakafuzi yasaba dda kkooti emukkirize, okweyimirurwa asobola okwewozaako ng’ava waka.

Kigambibwa nti wakati w’omwezi gwa January ne February omwaka guno ogwa 2018 ku bbaala ya De Bar mu Munisipaali y’e Ntebe, omuwawaabirwa Troy yatuusa obulabe ku muyimbi Mowzey Radio ekyamuviirako okufiira mu ddwaaliro lya Case Hospital e Kampala nga 1, Febraury, 2018.

Radio okutuusibwako obulabe yali agenze kulambula nnyumba ye esangibwa e Katabi – Busambaga oluvannyuma n’agenda okusisinkana mukwano gwe Pamela Musimire ku De Bar.

Obutakkaanya bwabalukawo era kigambibwa nti kanyama Troy yasitula Moze n’amukasuka wabweru w’ebbaala n’akosebwa omutwe, natwalibwa mu ddwaaliro lya Case Hospital e Kampala gye yafiira.

Troy
Troy

Kinajjukirwa nti omulamuzi akulira kkooti e Ntebe, Suzan Okeny yasindika Troy mu kkooti enkulu ku by’okutta omuyimbi Moze Radio kyoka omusango gwo tegunatandika kuwozebwa era Troy yasindikibwa ku Limanda mu kkomera e Kigo.