Abazinyi aba Global Dancers bakyabinuka n’okuyisa ebivvulu oluvanyuma lw’okuwangula emitwalo 100 (1,000,000) mu kivvulu kya Zzina Sosh olunnaku olw’eggulu ku Lwomukaaga e Kyadondo Rugby Grounds.
Okuvuganya kwabaddemu ebibinja ebyenjawulo okuva mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo ebisuuka 30 kyoka okuvuganya kwagenze okugwa nga Global Dancers bawangudde.
Abadigize bebasobodde okulonda omuwanguzi nga bayita mu kuwanika emikono.

Abadigize
Abadigize

Mu kivvulu, abayimbi bangi nnyo abakyamudde abadigize omuli Gravity Omutujju, Spice Diana, Roden Y Kabaako, Fik Fameica n’abalala kyoka Wembley ne banne balaze nti balina talenti y’okuzina.

Wembley
Wembley