Ensonga z’omubaka we Kyadondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine zongedde okulanda, bannamateeka abasuuka 15 bavuddeyo okuwerenemba ne Gavumenti mu kkooti.

Bobi Wine yaguddwako ogw’okulya mu nsi olukwe era yasindikiddwa ku Limanda mu kkomera e Gulu okutuusa nga 30, August, 2018.

Wabula bannamateeka okuva mu bitongole ebyenjawulo omuli Lukwago and Co. Advocates, Wameli & Co. Advocates, Rwakafuzi and Company Advocates n’ebirala bivuddeyo okutaasa Bobi Wine ekkomera.

Erias Lukwago, Laudislaus Rwakafuzi n'abalala mu kkooti gye buvuddeko
Erias Lukwago, Laudislaus Rwakafuzi n’abalala mu kkooti gye buvuddeko

Abamu ku bannamateeka kuliko omubaka we Busiiro East Medard Lubega Sseggona, Loodi Meeya wa Kampala Ssalongo Erias Lukwago, omubaka we Bugiri Asuman Basalirwa, Ladislaus Rwakafuzi, Nicholas Opio, Lillian Drabo, Benjamin Katana, Anthony Masake, Peter Majela, Anthony Wameli Yeboah, omwogezi wa Democratic Party (DP) Keneth Paul Kakande, Richard Lumu n’abalala.