Eyali addumira Poliisi mu ggwanga lino Gen Kale Kayihura talabiseko mu kkooti y’amaggye e Makindye enkya ya leero okwekeneenya n’okuzuula okunoonyereza wekutuusa ku misango egyamugulwako.
Okusinzira ku munnamateeka we Ellison Karuhanga, Gen Kayihura, yakiriziddwa agendeko mu ggwanga erya Kenya mu kibuga Nairobi okufuna obujanjabi kyoka endwadde eyamututte mu ggwanga eryo munnamateeka Karuhanga agaanye okugyogera.
Mungeri y’emu agambye nti, Gen Kayihura yasabye kkooti emisango gye okwongezebwayo, kkooti kye yakiriza era bamulagidde okuddayo okweyanjula nga 1, October, 2018.

Kinnajjukirwa nti Gen Kale Kayihura bamugulako emisango 3 mu kkooti y’amaggye e Makindye, ekubirizibwa Lt Gen Andrew Gutti omuli okuwa abantu baabulijjo ebyokulwanyisa omuli emmundu, okulemwa okunnyonnyola ekyamuteesaawo ebitongole by’okwerinda eby’enjawulo omuli Flying Squad n’okuzzaayo bannansi ba Rwanda abadduukiranga mu Uganda okubuddama mu kiseera ng’addumira Poliisi mu ggwanga lino wakati wa 2010 ne 2018 kyoka emisango gyonna yagyegaanye.