Poliisi e Kabale ekutte abantu basatu (3) ku by’okubba abantu nga beyambisa emmundu.
Abakwattiddwa kuliko Edison Asimwe myaka 46 omutuuze ku kyalo Rwabakyina cell mu ggoombolola y’e Maziba.
Abalala abakwatiddwa kuliko Martin Byaruhanga 31 omuvuzi wa bodaboda ku kyalo Kinyu cell Butobere ward Central mu ggoombolola y’e Kabale ne Nuwagaba Fenehasi naye avuga bodaboda mu katawuni k’e Kagarama mu ggoombolola y’e Maziba.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi bye Kigezi Elly Maate, abakwate babadde begumbulidde okusuula emisanvu mu kkubo ne banyaga abantu n’okuyingirira amayumba okubba ebintu ne ssente.
Mungeri y’emu agambye nti basangiddwa n’ebintu ebyenjawulo omuli emmundu namba Ak 47 no 3402253 – 07135, amasasi 12, ebyambalo ebyefananyirizaako eby’amaggye, pikipiki enzibe namba UEK 649 R, ejjambiya n’ebintu ebirala.
Omusango guteekeddwa ku Poliisi y’e Kabale ku fayiro namba CRBs 1502/18, 1503/18 ne 1874/18.