Kyaddaki Gavumenti ekakasiza nti omukuumi w’omubaka we Kyadondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine), Eddy Ssebuufu (Eddie Mutwe) wakutwalibwa mu kkooti e Gulu avunanibwe omusango gw’okulya mu nsi olukwe.

Eddie Mutwe ne Bobi Wine
Eddie Mutwe ne Bobi Wine

Gavumenti okuvaayo, kidiridde omulamuzi wa kkooti enkulu mu Kampala Musa Sekaana, okulagira Eddie Mutwe atwalibwe mu kkooti oba ayimbulwe okusinga okumukumira mu kaduukulu ka poliisi.

Wabula Peter Tusubiira okuva mu woofisi ya Ssaabawolereza wa Gavumenti, agamba nti Eddie Mutwe alina omusango era bagenda ku mutwala mu kkooti e Gulu ku misango gy’okulya mu nsi olukwe.

Eddie Mutwe ku kabangali ya Poliisi gye buvuddeko
Eddie Mutwe ku kabangali ya Poliisi gye buvuddeko

Eddie Mutwe wakuweza omuwendo gw’abantu 35 mu kkooti e Gulu ku misango gy’okulya mu nsi olukwe omuli ne mukamaawe Bobi Wine n’abakaka ba Palamenti 4.

Munnamateeka wa Eddie Mutwe, Anthony Kusingura okuva mu Kiiza Mugisha Advocates agamba nti agenda kukola kyona ekisoboka okuggya omuntu we mu kkomera.

Eddie Mutwe ku kabangali ya Poliisi gye buvuddeko
Eddie Mutwe ku kabangali ya Poliisi gye buvuddeko

Kigambibwa Eddie Mutwe y’omu ku bantu abali mu bitundu bya Arua ne bakasuka amayinja ku mmotoka z’omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni ekyavirako emu ku mmotoka okubwa ndabirwamu neyiika nga 13, August, 2018.