Poliisi ekyagenda mu maaso n’okunoonyereza ku musirikale eyakwatiddwa ku by’okutta musirikale munne mu bitundu bye Seeta, sabiti ewedde ku lunnaku Olwokusatu bwe yamukuba amasasi.

Omusirikale Joel Odeke Okurut, okuva mu kitongole ky’obwananyini ekikuumi ekya Pyramid Security Group ekisangibwa e Ntinda mu Kampala, yakwattiddwa ku by’okutta ku munne ku ssomero lya St. Catherine e Seeta mu disitulikiti y’e Mukono gye bali basindikiddwa okukuuma.

Okurut yasangiddwa ku kyalo Nagalama gye yali aduukidde okwekuuma era bamusanze nga yetekateka kugenda mu basawo b’ekinnansi okumutaasa omusango.

Mu kiseera kino, aterekeddwa ku Poliisi y’e Mukono ku misango gy’obutemu nga Poliisi bwegenda mu maaso n’okunoonyereza.